Empaka z’emipiira gy’ebika bya Baganda ez’omwaka 2024 zitandikidde bbugumu, Bazukulu ba Gunju abeddira obutiko bakubye bazukulu ba Gabunga abe Mamba 3 – 2 mu mupiira ogunyumidde abalabi mu Kisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku.
Gololo eziwadde Obutiko obuwanguzi ziteebeeddwa Edrine Kagambe , Steven Namuwanda , ne Richard Wandyaka , ate ggooli ebbiri eze Mamba ziteebeddwa John Wesley Kisaakye nga zibadde zakusimula Penneti.
Mu mbeera yeemu empaka z’okubaka zikomekerezeddwa nga Bazukulu ba Mbaziira eb’ennyonyi e Nnyange basitukidde mu Ngabo oluvanyuma lwokukuba bazukulu ba Gabunga e Mamba Namakaka obugoba 21 ku 18.
Abawanguzi baweereddwa ensimbi obukadde Musanvu, ate Emmamba nefuna obukadde bwa shs butaano.
Bazukulu ba Kasujja eb’Engeye bakutte kyakusatu bwebawangudde bazukulu ba Mukalo eb’Enjovu obugoba 35 ku 25.
Abakutte eky’okusatu bawereddwa obukadde bwa shs busatu ,ate e Njovu obukadde bubiri.
Kamala Byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu Kisaawe e.Wankulukuku nagamba nti ebika Mpagi nkulu mu Buganda, era ajjukiza abazukulu bonna okuwagira emirimu egikolebwa mu bika byabwe.
Mungeri yeemu Katikiro atenderezza Omutindo ogwoleseddwa mu Mupiira oguzanyiddwa mu kuggulawo empaka z’ebika ez’omupiira ogw’ebigere.
Minister w’abavubuka, emizannyo n’ebitone Owek.Salongo Robert Sserwanga yebazizza abantu bonna abataddemu amaanyi mu mpaka z’omwaka guno okuzannyizibwa , bwatyo asabye ebika okwongera okwetegekera enzannya eziddako.
Ali Balunywa kulwa Airtel Uganda abavujirizi be Mpaka zino yeyamye nti betefuteefu okuwagira eby’emizannyo mu bwakabaka okutumbula ebitone ku mitendera egy’enjawulo.
Omupiira guno gwetabiddwako Bajajja Abataka abakulu ab’obusolya ne bakatikkiro babwe, Omumyuka asooka owa Katikkiro Ow’ekitiibwa Dr Prof Twaha Kawaase Kigongo , ababaka ba Parliament nabakulembeeze ku mitendera egyenjawulo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius