Akitongole kyo bwanakyewa ekivunaanyizibwa kukujjanjaba nokulabirira abantu abatulugunyizibwa mu ggwanga ki African Centre For Treatment and Rehabilitation of Torture, kyagala gavumenti eronde mubunambiro akulira akakiko keddembe lyobuntu mu ggwanga, kisobozesa emisango gyokulinyirira abantu, eddembe lyabwe eryatyoboolwa okuwulirwa.
Bino byogeddwa ekulira ekitongole ekivunaanyizibwa kukujjanjaba nokulabirira abantu abatulugunyizibwa ki African Centre For Treatment and Rehabilitation of Torture Samuel Albert Nsubuga, bwabadde eyogera nebannamawulire ku owofisi zabwe e Kanyanya, ategeezeza nti mukisera kino akakiko kalina akolanga Ssentebbe Katabalirwe Amooti, naye talina buyinza bujjuvu kusalawo ku misango gino.
Nsubuga agamba nti akakiiko keddembe lyo buntu obutabeera na kakulira kisanyalaza nnyo enkola yemirimu, nga gavumenti erina okulonda akulembera akakiko kano naddala mukisera kino ekyokunoonya obululu nga Uganda yetegekera okulonda, eddembe lyobuntu mwerisinga okutyobolerwannyo.
Ono anyonyodde nti mukisera kino ebitongole ebirwanirizi byeddembe biwandika alipppota nnyingi kungeri abantu gye batulugunyiziddwamu wabula tezikolwako olwakakiiko obutabera na Ssentebbe omujjuvu.
Cue in…..Nsubuga Kulonda Ssentebe
Alex Kigoye omukungu mukitongole kino avumiridde amaanyi agakozesebwa ku banansi gyebuvuddeko, bwebaali balaga obutali bumativu kungeri police gyeyakwatamu eyesimbyewo okuvuganya kubya pulezidenti, mu kibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi, era asabye gavumenti okukozesa amateeka okukakanya ebekalakasa wabula sikulinyirira ddembe lyabantu.
Nabwire Esther akulira ebikolebwa mukitongole kino ategeezeza nti bali mukawefube owokutukirira ebitongole ebikuma ddembe okubanyonyola kubantu abaali mu byambalo bya police okutali mannya nga benaanise obukokolo, bavunaanibwe nga bantu.