Tiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi eya Crested Cranes ekubye Burundi goolo 4 – 1.
Guno gwemupiira oguggaddewo ekibinja A mu mpaka za Cecafa Senior Women championships, eziyindira ku FUFA Technical Center e Njeru.
Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa Fazila Ikwaput 1, Shamirah Nalugya 1 ne Sandra Nabweteme atebyeko goolo 2.
Omupiira ogwasoseewo mu kibinja kino A Rwanda yakubye Djibouti goolo 2 – 0.
Uganda erinze semifinal nga ekulembedde ekibinja A n’obubonero 9.
Burundi nayo eyiseewo mu kifo eky’okubiri obubonero 6 ate Rwanda ewandukidde ku bubonero 3 ate Djibouti tefunyeyo kabonero konna.