Cbs FM ekungubagidde munnakatemba Paul Kato Lubwama, era eyali omukozi waayo omuyiiya ow’enjawulo.
Akolanga Ssenkulu wa CBS era akulira eby’emirimu Omukungu Robert Kasozi ayogedde ku Kato Lubwama, ng’omuntu abadde omugezi, omuyiiya era omutetenkanya eyakola ennyo okukyusa empeereza ya Radio mu Uganda, ng’akolera wamu ne Hajji Abby Mukiibi akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS Fm.
Agambye nti nga bakolera wamu, baasaawo enkola eyenjawulo mu mpeereza ya radio eyettanirwa omuntu wa bulijjo, nga bayita mu bubaka obukwata obutereevu ku bannauganda.
Kato Lubwama nga munnakatemba era abadde n’ebitone ebiwera, yakola obulango bungi obwakwatanga ku mitima gy’abantu.
Kato Lubwama yeyakola akalango ka CBS “Owange makanika radio ojitunda sente mekka….emitwalo 300,000/= gokka. Heeeeeee ngula bulamu?. Anti erimu radio zonna, tosobola kuggyamu radio endala n’endekeramu CBS yokka n’onsalirako?”
Kato Lubwama yaweerereza ku CBS okumala ebbanga erisoba mu myaka 15, mu program ya Kaliisoliiso ebaawo okuva ku ssaawa emu n’ekitundu eyokumakya okutuuka ku bbiri (7:30am – 8am). Okuva Monday – friday ku mukutu ogwa 88.8.
Omukungu Robert Kasozi eyali akulira abakozi Kato Lubwama weyakolera ku CBS, agambye nti
“Kato yali teyerya ntama era nga yali ayogera ekimuli ku mutima, waliwo n’abaambuzaanga nti omusajja oyo omusobola otya!. Wabula ate yalinga mwangu nga bwomutegeera yabeeranga mwangu okukulembera”.
Kato Lubwama yazaalibwa ku kyalo Nkozi B mu ssaza lye Mawokota mu district ye Mpigi.
Yazaalibwa nga 16 August, 1970 afiiridde ku gy’obukulu 52.
Kitaawe ye Lubwama Ssenjabya ne nnyina Nnalongo Nakawunde.
Yasomera ku Nabagereka Primary School gyeyatuulira PLE, ate Senior yagisomera ku Old Kampala S.S.
Yasoma diploma mu katemba n’okuyimba okuva ku Makerere Univeristy.
Abadde munnakatemba, omutendesi, omuzannyi era omuwandiisi w’emizannyo, omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba.
Kato Lubwama abadde mugundiivu katemba n’okuyimba, era yatandikawo ekibiina kya Diamonds Ensembles, Diamond Production, Royal theatre n’ebirala.
Ennyimba ze kwekuli Biiso, bank y’ebyama byo, Dimitria, Abantu Bazibu n’endala.
Abadde munnabyabufuzi omuwagizi wa Democratic Party, wabula nga yali yatandikawo ekisinde kye kyeyatuuma “Solida” kyeyakozesa okukunga banalubaga South okumulonda abakiikirire mu parliament mu kalulu ka 2016.
Paul Kato Lubwama mu kalulu ako yakozesa nnyo engombo egamba nti bannange munnonde, nange ngende ndyeko” , bwatyo n’awangula emitima gya bannalubaga South nebamuweereza agende alye, nga bw’abakiikirira okumala ekisanja kiramba 2016 – 2021.
Enteekateeka z’okuziika
Okusinziira ku nteekateeka ezakafuluma; Kato Lubwama wakuziikibwa nga 14 June, 2023.
Omubiri gwe gugiddwa mu Stana medical centre gyeyabadde addusiddwa ekiro ng’embeera etabuse, gutwaliddwa mu ddwaliro e kkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Bwegunagibwa e Mulago gwakutwalibwa mu Funeral home okutuuka ku friday nga 09 June,olwo atwalibwe mu maka ge e Mutundwe mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Ku sunday nga 11 June,2023 wakusabirwa mu lutikko e Lubaga.
Ku bbalaza nga 12 June,wakutwalibwa mu National Theatre bannakatemba n’abayimbi gyebanaamukungubagira mu butongole.
Eyo gyanagyibwa atwalibwe ku butaka e Nkozi Mawakota era gy’agenda okuziikibwa nga 14 June,2023.
Kitalo!