Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu district ye Wakiso kasazeewo okuwandiikira ekitongole kya government ekirondoola obutonde bw'ensi aka National Environment Management Authority NEMA wamu n'ebitongole bya government ebiwa olukusa kkampuni ezikuba amayinja...
Ssetendekero y'Obwakabaka Muteesa I Royal University kyaddaaki efunye Charter gyebadde erindiridde okumala ebbanga. University Charter kyekiwandiiko ekyoku ntikko ekitongole ekirondoola amatendekero agawaggulu ki National Council for Higher Education gyekiwa University...
Ssentebe wa district ye Nakaseke Ignatious Koomu awalirizza abasomesa ba primary 40 okuva mu masomero 15 agaakola obubi ennyo ebibuuzo bya PLE ebya 2023 mu district eyo, okukola ebigezo bya...
Police ekutte omujaasi agambibwa okudduka mu ggye ly'eggwanga erya UPDF ne yegatta ku kabinja k'abayeekera aka ADF abagambibwa okutigomya Uganda ne Congo. Omukwate ye Hassan Mustafa Ndalihe wabula nti amannya...
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kittavvu ky'ensimbi z'abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), kirangiridde nti kituuse ku buzito bwa Trillion 20, wadde ng'ekiruubirirwa kino kyaku kisuubirwa kutuukibwako mu mwaka ogujja ogwa...
Omusirikale wa police agambibwa okuwamba pikipiki ku wa bodaboda neyefuula n'aagibba asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi n'aggulwako omusango gw'obubbi. PC Micheal Ahabwe myaka 37 asiimbiddwa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala erisooka Siena...
Bannamateeka baddukidde mu kooti etaputa ssemateeka, bagala eggyewo akakalu ka kooti akassibwa ku bantu ababeera bakkiriziddwa okuyimbulwa bawoze nga badda waka, wabula nga tebalina busobozi bukasasula. Bannamateeka nga bakulembeddwamu Amos...