Omubiri gw’Omulangira Michael Solomon Ssenyimba Ndawula eyaliko Omulabirizi we Mukono guterekeddwa mu nju ye ey’olubeerera ku St. Phillip ne Andrew Cathedral e Mukono.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Omulangira olw’Obuweereza obusukkulumu eri Obwakabaka bwa Buganda n’Obwakatonda, n’okukozesa obulungi ebibala ebirungi Katonda byeyamuwa, okubeera n’emmizi, n’Okuweereza Namulondo.
Ssaabasajja obubakabwe busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, naasaasira ab’enju y’omugenzi olw’okuviibwako omuweereza owenjawulo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe, atenderezza Omugenzi Ssenyimba olw’okubeera Omuyivu ate era omutegeevu, atambuzza emirimu gya Mukama ne Kabaka we era nga byonna abadde abikuba budinda.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Past District Governor Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza omugenzi Olw’Obuvumu ,obumalirivu n’Obuyiiya bwayolesezza mu buweerezaabwe.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda kitaffe mu Katonda The Most Rev Dr. Steven Samuel Kazimba Mugalu, asinzidde mu kusaba okwokweebaza katonda olw’ebibala byeyawa Omugenzi, namweebaza Obutalwaanyisa Kanisa nga bweguli ensangi zino.
Ssabalabirizi agambye nti ensangi zino abantu baweddemu ensonyi bafuuse ba kiwagi, nga n’emirimu gy’akanisa nagyo bagisiimbira ekkuuli, neyewera nti siwakubakkiriza.
Okutereka Omulangira Bishop Michael Ssenyumba nga kuwedde , omusika we nga ye Dr.Henry Wassajja alagiddwa eri abakungubazi, ng’omukolo guno gukoleddwa Ssabalangira Godfrey Musanje.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Majorine Kiita Mpanga