Abamegganyi 60 abeetaba mu Program Entanda ya Buganda 2023 ku CBS FM bonna baweereddwa ebirabo byabwe.
Omukolo gw’okubakwasa ebirabo guyindidde mu luggya lwa Bulange e Mengo.
Ebirabo ebibaweereddwa kuliko ebyapa by’ettaka ebikwasiddwa Omuzira mu bazira, omuzira w’Entanda Diaspora, n’eEntanda y’abaana abato.
Amabegganyi abalala mulimu abaweereddwa ensimbi enkalu, Solar ne battery zaakwo, Piki piki, emifaliso, enkumbi ne kiri mu ttu.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe abeebazizza okwewaayo nebavuganya mu Ntanda.
Abasabye babeere babaka ba CBS mu bitundu byabwe gyebabeera n’okufuba okusaasaanya obubaka bw’okukuuma obutonde bw’ensi n’okwettanira Tekinologiya.
Omuk.Kawooya Mwebe agambye nti omulamwa omukulu ogwa Program Entanda ya Buganda gwakunyweza ennono ya Buganda n’Olulimi Oluganda.
Munna Kabula Kiberu Kizito Kamya eyeddira Emamba Namakakka, omuzira Mu bazira w`omwaka oguwedde 2023 akwasiddwa ekyapa ky’ettaka, Piki piki, obukadde 5, solar panel ne battery, nettu lyebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabuligyo.
Kiberu yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka eyatandikawo radio Cbs ebatuusiza ku kkula lino.
Munna Buddu Ssemaganda Gerald eyeddira Engabi Ensamba, eyakwata eky`okubiri, afunye piki piki, ebaasa yakavu wa bukadde 3, solar panel ne battery, omufaliso, n’ettu ly’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabuligyo.
Munna Buddu Bogere Richard eyeddira Ennyonyi Enyange eyakwata eky`okusatu, afunye ebaasa ya bukadde 2, omufaliso, piki piki, solar panel ne battery, n’ettu ly’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabuligyo.
Munna Mawokota Nassiwa Prossy eyeddira Engo eyakwata eky`okuna, afunye kavu wa kakadde kamu, omufaliso, eggaali manyi gakifuba, embuzi, n’ettu ly’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabuligyo.
Munna Buddu Bukenya Francis eyeddira Engabi eyakwata eky`okutano, emitwalo 75, enkumbi, Omufaliso, ettu ery’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabuligyo.
Munna Buddu Kayemba Roland Walugembe eyeddira Empologoma eyakwata eky`omukaaga, emitwalo 50, omufaliso, embuzi, enkumbi, n’ettu ly’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa buligyo.
Abazira mu bazira abali ebweru wa Uganda abaawangula entanda Diaspora nabo bakwasiddwa ebyapa byabwe, nga ku bano kuliko Lubuulwa Mark eyeddira Empologoma owe Canada eyawangula eyabakulu, wamu ne Kamya Andrew eyeddira Embogo owe Bungereza eyawangula ey’abato.
Mu mbeera yeemu abamegganyi bonna 60 abetaba mu program Entanda ya Buganda ey`omwaka oguwedde 2023 balina ebirabo ebibaweereddwa.
Ebifaananyi: MK Musa