Munna UPC sarah Aguti Nyangkori awangudde akalulu kokuddamu okulonda omubaka omukyala owe Dokolo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekisiddwako omukono gw’akulira ebyokulonda e Dokolo Ngobi Erikwaibe, Sarah Aguti afunye obululu 23044,diridwa Adongo Janet owa NRM akutte kyakubiri afunye obululu 14,001.
Munna FDC Rosemary Ogwal muwala wómugenzi Cecilia Ogwal afunye obululu 8,168.
Agen Harriet owa NUP afunye obululu 727,Arao Rebecca atalina kibiina afunye 439 ne Akullo Esther atalina kibiina afunye obululu 790
Aijesita ebaddemu abantu emitwalo 95,683 bebewandiisa okwetaba mu kuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Dokolo.
Kuliko abakazi 49,872 nga baweza ebitundu 52.12%, ate abasajja bali 45,811 bye bitundu 47.88%.#