Abantu abenjawulo betabye ku kyeggulo ekitegekeddwa ku Skyz Hotel e Nagguru, okusoonderako ssente ez`okusimba ekibira kya Kabaka okwetoolola amasaza ga Buganda gonna.
Ekyeggulo kino kitegekeddwa Obwakabaka bwa Buganda nebannywanyi babwo ab`obukago aba Uganda Biodiversity Fund, nevujirirwa Centenary bank ne Absa Bank.
Omumyuka ow`Okubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwaniika w`Obwakabaka Owek. Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa, agambey nti ng`abawereeza b`Obwakabaka bateekwa okutekeesa mu nkola ekiragiro kya Bbeene eky’okusimba ekibira kye okwetoloola amasaza gonna agali mu Bwakabaka, kiyambeko mu kutereeza Obutonde bwensi obutaguseetaguse ensangi zino.
Owek Waggwa Nsibirwa era agambye nti enteekateeka y`Obwakabaka ey`okuzaawo obuntonde bwensi ng`eyitira mu buwangwa n’ennono ekyaliwo nnyo, era etaddewo enkyukakyuka ey’amaanyi.
Ssenkulu w’ekitongole kya Uganda Biodiversity Fund Ivan Amanigaruhanga, yeeyanzizza Namunswa olw’enteekateeka eno gy’agambye nti egenda kuyambira ddala mu kuzawo obutonde bwensi.
Ekijjulu kino kyetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Owek Mariam Mayanja Nkalubo minister w’obutonde bwensi, bulungi bwansi, amazzi n’ekikula Kyabantu, Owek Ritah Namyalo Waggwa, n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Musisi John