Minister wa government ez’ebitundu era akola ku nsonga z’ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki atuuzizza Omubaka wa Ssaabasajja mu ssaza lye Busia, Tororo ne Malaba Ow’ek. Ssenkumba Joseph n’omumyuuka we Ow’ek. Kizito Ronald.
Alayizza n’abakulembeze b’Obwakabaka abalala mu Ssaza lino.
Owek.Kawuki abakalaatidde okulwanirira Obwakabaka era nabategeeza nti tekulina kubeera mu bigambo byokka, wabula n’okubeera n’empisa kko n’okulungamya abantu okukola ennyo.
Mu ngeri yeemu Owek.Kawuki akyaddeko mu Lubiri lw’omukulembeze ow’ennono owe Bugwe, Omwenengo Philip Wanyama Hasibante Nahaama.
Asisinkanye ba minister b’obukulembeze bwe Bugwe n’abatuuze abalala abakulembeddwamu omumyuka asooka owa Katikkiro wabwe Arafat Barasa Egesa.
Mw. Egesa amwanjulidde obwakabaka bwa Mwenengo byebukola, era n’amusaba okubawa amagezi ku ngeri gyebqsobola okuyimirirawo mu kiseera kino ekyokusoomozebwa.
Owek Joseph Kawuki abategeezezza nti okunyigirizibwa kw’obukulembeze obwennono kufaanagana, okugeza nti Buganda okutuusa kati ekyabanja ebintu byayo, nga bweguli ne ku Bugwe nayo esaba byayo.
Agambye nti kano ke kabonero akasookerwako akalaga nti enkola ya federo yetaagibwa mu buli bukulembeze bw’ennono ssi Buganda yokka.
Wabula abasabye nti yadde balina byebabanja, nti naye basigale nga bakola ebyabwe olwo byebabanja government biribasanga batambula.
Ku bugenyi buno, Owek Joseph Kawuki abadde wamu n’Omubaka wa Kabaka e Busia Malaba ne Tororo n’omumyukawe Ronald Kizito, Omuteesiteesi omukulu mu Woofiisi ya Katikkiro, Omuk. Josephine Nantege, n’abaweereza b’Obwakabaka mu biti eby’enjawulo.#
Bisakiddwa: Kato Denis