Minisiter w’Abavubuka, eby’emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Sserwanga Ssaalongo, agambye nti enteekateeka zino zaakutandika n’ekyeggulo eky’okusonda ensimbi nga 12 April,2024 mu Hotel Africana mu Kampala.
Owek. Sserwanga agambye nti ekyeggulo kino kiruubirira okufunamu ensimbi ezinaayamba mu kuddukanya empaka zino, nókuzoongeramu ettutumu.
Empaka zómupiira ezébika byÁbaganda ziwezezza emyaka 50.
Omuntu sekinnoomu waakusasulayo ensimbi emitwalo asatu, kkampuni nébitongole bisasula obukadde kkumi (sh 10m) ate ebika bisasula obukadde busastu wabula nga bisobola nókugula emmeeza ezisukka mu emu.
Agambye nti ku mulundi guno empaka z’omupiira zaakuggulwawo n’omuzannyo gw’abawala ogw’okubaka okuva nga 20 April okutuuka nga 27 lwebanaazannya ez’akamalirizo, ate ku olwo era n’ogwabasajja ogw’ebigere lwegunaggulwawo.
Emmamba Nnamakaka ne Obutiko bebanaasooka mu nsiike ku njuyi zombi.
Omutaka Kidimbo omukulu w’ekika kya Enkerebwe ku lw’abajjajja abataka abakulu b’ebika, akoowodde abazzukulu mu Buganda n’ebweru okuwagira ebika byabwe, omupiira guno guddemu okufuna ettutumu.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emipiira gy’ebika by’Abaganda, Katambala Hajji Sulaiman Magala agambye nti omwaka guno emipiira gino gitegekeddwa ku mutindo ogutalabwangako, nti kubanga gwa byafaayo nnyo olw’okuweza emyaka 50.
Empaka ez’akamalirizo mu mupiira ogw’ebigere ziribaawo nga 8 June,2024.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.