Ministry y’eby’obulamu erabudde banna Uganda okukendeeza okukola dduyiro ow’amaanyi mu kiseera kino eky’ebbugumu erisaanikidde Uganda, nti okuviirako omubiri okukamuka ennyo negulumbibwa ebirwadde.
Ensangi zino eggwanga lisaanikiddwa ekibuguumirize ekisukiridde, ekiviriddeko naabantu abamu okusula nga tebaggaddewo madirisa gabwe mu kiro, okwebikka nakwo kuzibu n’ebirala, basobole okufuna ku buweerero, olw’ebbugumu eringi.
Ministry y’ebyobulamu egamba nti abantu obutaggala madirisa kiro nakyo kiteeka abantu mu bulabe bwokukosebwa n’okulumbibwa ebisolo nebyewalula eby’obulabe ng’emisota nga nabyo binoonya okufuna obunyogovu.
Embeera eno ereesewo obunkenke mu banna Uganda, nga beebuuza ekiseera kino lwekirikoma.
Abantu bakubiriziddwa okukendeeza ku dduyiro gwebakola, okujjumbira okunywa ennyo amazzi n’okwekuumira mu bisiikirize.
Dr. Allan Muruuta akolanga akulira eby’okusomesa abantu ku byobulamu ebyabulijjo mu ministry y’ebyobulamu, agamba nti abantu balina nokukendeeza ku budde bwebakoleramu dduyiro.
Ebitundu ebiri mu bibuga n’ebyalo emiti gyegisaanyiziddwawo byebisinze okukosebwa embeera eno.
Okusinziira ku Kalema Abubakar, omukugu mu kitongole ekirondoola enteebereza y’obudde ekya Uganda National Metrological Authority, ekibugumu kino ekitali kya bulijjo kisuubirwa okukendeera mu bbanga lya wiiki emu yokka, era nga basuubira n’enkuba okutonnya mu bungi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis