Omukasusi w’olunyago Joyce Josephine Lalam, awangulidde Uganda omudaali ogusookedde ddala mu byafaayo mu kukasuka olunyago mu mpaka za African Games eziyindira mu Ghana.
Joyce Josephine Lalam akutte ekifo kyakusatu n’awangula omudaali ogw’ekikomo.
Olunyago alukasuse obuwanvu bwa mita 57.01.
Guno gwe mudaali gwa Uganda ogusoose mu muzannyo gw’okukasuka olunyago mu mpaka za African Games bukyanga zitandika mu 1965.
Lalam ataddewo record y’eggwanga empya eya mita 57.01, nga kinnajukirwa nti mu mpaka za African Games 2019 mu Rabat Morocco yakwata ekifo kya 4.
Ajjukirwa okuwangula omudaali ogw’ekikomo mu 2018 mu mpaka za Africa Senior Championships ezaali mu Asaba Nigeria.
Mu mbeera yeemu n’omuddusi Peruth Chemutai, awangulidde Uganda omudaali gwa feeza mu misinde gya mita 3000 egya steeplechase, nga agiddukidde eddakiika 9:16:07.
Munna Kenya Beatrice Chepkoech yawangudde emisinde gino egiddukidde edakiika 9:15:16.
Mu mpaka za All African Games, Uganda yakawangula emidaali 2 mu misinde nga gyonna gya feeza. Halima Nakaayi yeyasoose okuwangula feeza mu misinde gya mita 800.
Bisakiddwa: Isah Kibugwe