Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu alangiridde enteekateeka z’okukungubagira n’okuziika omulabirizi w’e Mukono eyawummula Bishop Prof. Michael Ssenyimba.
Nga 20 March,2024 Ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, waakubaawo okusabira omugenzi mu maka ge e Migadde.
Nga 21 March, wakusabirwa mu lutikko e Namirembe ku ssaawa nnya ez’okumakya, oluvannyuma omubiri gwe gutwalibwe mu lutikko e Mukono gyegunaasuzibwa.
Prof. Ssennyimba wakuziikibwa nga 22 March,2024 ku lutikko e Mukono, era wanaasookawo okusaba okunaatandika ku ssaawa nnya ez’okumakya.
Ssaabalabirizi Kazimba yeebazizza Katonda olw’obuweereza obugasa bwakozesezza omugenzi bwayolesezza ng’omulokole ajjudde.
Ssaabalabirizi agambye nti Omulabirizi Ssennyimba yali musaale nnyo mu kubangawo enkola ennungamu (Policies) ekkanisa kwetambulizza emirimu egyenjawulo naddala mu nsonga z’ensimbi.
Amwogeddeko ng’abadde omusomesa omutuufu naddala weyabeerera Omumyuka wa ssenkulu wa Ndejje University, n’awoma omutwe mu nteekateeka z’okutumbula n’okwagazisa abayizi amasomo ga Ssaayansi.
Bishop Ssenyimba abadde ssentebe w’ekitongole kya Kabaka Foundation.
Bishop Ssennyimba yafiiridde ku myaka 86 egy’obukulu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.