Police mu bizinga e Ssese etandise okunoonyereza ku kyaviiriddeko emmotoka Sinotruck okutomera omwana omuto n'emutta bweyabadde alinnya ekidyeri okuva e Kalangala okudda e Lutoboka. Akabenje kano kaaguddewo ku saawa kkuminabiri...
Luggya Bbosa Tabula avunaanibwa ogw'okukulemberamu olukwe olw'okutta eyali omukulu w'ekika ky'Endiga Eng. Daniel Bbosa, asindikiddwa ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 03 October, 2024 lwanadda mu kooti okwennyonyola...
Abatuuze be Kitanaaba mu Buwenge district ye Jinja bakeredde mu ntiisa, bwebasanze entaana zabantu musanvu nga zisimuddwasimuddwa. Abatuuze bagamba nti basanze entaana z'abaana 4 ziziikuddwa n'ez'abakulu 3 nga zonna ziri...
Luggya Bbosa Tabula akkiriza nti yeyakola olukwe lw'okutemula eyali Akulira ekika ky'Endiga Omutaka Eng.Daniel Bbosa. Bbosa omusango agukkiririzza ku police awatali kumukaka, era atwaliddwa ku kkooti ya Buganda road okuwaayo...
Abayizi b'essomero lya Trust Infant school Nakaseke basimattuse akabenje akagudde mu town ye Nkumba ku luguudo lwe Entebbe. Abayizi bano babadde bagenda kulambula ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe n'ekifo ewakuubirwa ebisolo...
Ministry y'ebyenjigiriza etongozza kawefube wokuddamu okuzimba n'okugaziya amatendekero ga government ag'rmikono 9 okwetoloola eggwanga gatuukane n'omutindo gw'ebyenjigiriza ogusaanidde ogutambulira ku nkola za digital. Ku matendekero 9, amatendekero 2 gali mu...