Ministry y’ebyenjigiriza etongozza kawefube wokuddamu okuzimba n’okugaziya amatendekero ga government ag’rmikono 9 okwetoloola eggwanga gatuukane n’omutindo gw’ebyenjigiriza ogusaanidde ogutambulira ku nkola za digital.
Ku matendekero 9, amatendekero 2 gali mu Buganda okuliko St Kizito Technical Institute erisangibwa e Kitovu Masaka mu Buddu, ngalino essira liritadde ku kubangula abayizi mu by’amasanyalaze n’essimu, eddaka ye Lutunku Technical Institute erisangibwa e Ssembabule mu mawogola, nga gombiriri gaakuwementa obuwumbi bwa shs 18 n’obukadde 400.
Amatendekero amalala kuliko Moyo Technical Institute erisangibwae Moyo.
Minakulu Technical Institute erisangibwa Oyam. Moroto Technical Institute erisangibwa e Napak. Birembo Technical Institute erisangibwa e Kakumiro.
Nalweri Technical Institute erisangibwa e Busai.
Kabale Technical Institute erisangibwa e Kabale ne Nkoko Technical Institute erisangibwa e Mayuge.
Okusinziira ku akola ng’omuteesiteesi omukulu mu ministry yebyenjigiriza, Dr Jane Egau, ensimbi obuwumbi 85 n’obukadde obusoba mu 868 zezokusasanyizibwa ku nteekateeka eno egenda okumala emyaka 3 ku buli ttendekero.
Dr Egau agamba baafunye obuvujjirizi okuva mu Islamic Development Bank, era kampuni enzimbi 4 okuli eya Prisma, Ambitious Construction, CRJE East Africa Ltd neeya Zhogmei Engeering Group zezikwasiddwa ttenda zino mu matendekero gonna 9.
Mu nteekateeka eno, amatendekero gakuzimbibwako ebisaawe eby’emizannyo eby’omulembe, ebibiina by’abayizi mwebanaasomera, ebisulo, Library za ICT, Amakeberezo (Labaratory), Awakolerwa ebyemikono n’ebirala.
Dr Egau agambye nti amatendekero gano gatunuulidde ensomesa yaamasomo okuli ebyokuzimba, ebyobulimi, ebyamakolero, ebyamasanyalaze,eby’essimu, ebyobulambuzi, nebirala.
Bwabadde atongoza okugaba ttenda zino n’okuzikwasa kampuni ezigenda okuzikolako mu butongole, minister w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni, mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, asabye abagenda okukola omulimu, okugukola nga muyonjo ate bagumalirize mu budde.
Bisakiddwa: Ddungu Davis