Police mu bitundu bye Karamonj enunudde emmudu emu n’amasasi 4, n’abantu 80 bakwatiddwa abagambibwa okubba ente z’abatuuze mu bitundu ebyo,mu bikwekweto byekoze okwetoloola Karamoja.
Kigambibwa nti ababbi bano Ente zino basinga kuzitunda mu Democratic Republic of Congo.
Kigambibwa nti abakwatiddwa basangiddwa n’ebiddomola byawaragi, n’ebintu ebirala bingi ebigambibwa okuba ebibbe.
Omwogezi wa police ye ggwanga Rusooke Kituuma asinzidde Naguru ku kitebe kya Police nategeza nti abakwatte abamu fayiro zabwe zaawedde okukolebwa, era esaawa yonna zakutwalibwa eri sabawabi wa government abalungamye.