Abayizi b’essomero lya Trust Infant school Nakaseke basimattuse akabenje akagudde mu town ye Nkumba ku luguudo lwe Entebbe.
Abayizi bano babadde bagenda kulambula ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe n’ekifo ewakuubirwa ebisolo ekya Uganda Wildlife Education Centre.
Aba Trust Infant school Nakaseke babadde batambulira mu bus kika kya Isuzu number UBA 839B etomereganye n’emmotoka ya office ya state House number UG 2402 C.
Tewali muntu yenna afudde wadde ng’abayizi abawerako babuseewo n’ebisago eby’amaanyi.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo