Essiga eddamuzi lisabiddwa okugolola ettumba bakaggwensonyi abakabasanya abantu abaliko obulemu nebabatunuza mu mbuga zasitaani ekiviiriddeko bangi okusiigibwa akawuka ka siriimu, n’okubafunisa embuto nga tebannetuuka.
Omumbejja Mazzi Deborah Nakayenga akiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa district ye Wakiso asiInziidde ku Kolping Hotel mu Kampala mu mussomo ogwategekeddwa ekitongole kya Paradigm for social Justice and Development PSD ogugendereddwamu okubangula abavubuka okumanya ebikwata ku nkyukakyuka gy’emibiri gyabwe.
Agambey nti bayita mukusoomozebwa okw’amaanyi olwa kkooti obutakkiriza bantu babwe naddala abatalaba okuwa obujjulizi ssonga atte abantu ababeera babatuusizaako ebikolobero babeera basobola okubaawula kubalala.
Hadijah Nansubuga omuteesiteesi omukulu mu kitongole kya PSD agamba nti basanze okusoomozebwa okw’amaanyi mu bazadde nga bangi kubbo balowooza okusomesa abaana kunkyukyukya gy’emibiri gyabwe , babeera babonoona, nti sso kiviriddeko abaana bangi okugwa mu nsobi ezisobola okwewalika .
Amyuka Ssentebe wa district ye Wakiso Bettina Nantege asabye abazadde okukozesa obulungi oluwummula okwogerezeganya n’abaana babwe obutagwa mu nsobi ezokutandika ebikolwa ebyekikulu nga bakyali bato .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo