Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA kisazeewo okwesonyiwa ekifo ky’e Kiteezi ewabadde wayiibwa kasasiro, oluvanyuma lw’abantu abaliraanyeewo okuba ng’ettaka lyabwe balitunda ensimbi nnyingi.
Ekifo kino kibadde kirowoozebwa nti KCCA kyegenda okukozesa okuzimbako n’okusaako ebyuma eby’omulembe ebikenenula kasasiro, oluvanyuma lw’enjaga eyagwawo kasasiro bweyabumbulukuka natta abantu abasuka mu 30.
Abantu abalala abasukka mu 100 abaali babeera mu kifo kino baasigala babundabunda, era government yabateerawo wemma mwebaweera obuyambi nga bwerowooza kukyokubakolera.
Ekitongole kigamba nti kisazewo okugula ekifo ekyayo wekigenda okuyiwa Kasasiro, oluvanyuma lwokugobaganyizibwa buli gyebabadde balowooza okumutwala.
KCCA okusalawo bweti kiddiridde olukiiko lwa baminister okuyisa ensimbi obuwumbi 16 buweebwe KCCA eteeketeeke wegenda okuyiwa kasasiro.
KCCA esuubira okugula ettaka lye Bujuuko ku luguudo lwe Mityana, ne Maya ku luguudo lwe Masaka, era nga yetaaga yiika 100, gyesuubira okutandika okuyiwa kasasiro n’ebyuma eby’omulembe ebigaaya kasasiro.
Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda ategezezza CBS nti baliko ensisinkano eyamangu gyebagendamu okusalawo ku nsimbi ezaabaweereddwa.
Minsa agambye nti abatunda ettaka lye Kiteezi eririraanye ewabadde wayiibwa kasasiro, buli yiika bagitunda obukadde bwa shs 400.#