Eggye lya UPDF eryasindikibwa mu Central African Republic okulwanyisa Omumpembe Joseph Kony liriko enkambi 3 zeriteekedde Omuliro nezibengeya, nerisanyaawo ebyokulwanyisa ebibaddemu.
UPDF nga eyambibwaako eggye lya Central African Republic n’Egye lya South Sudan ekikwekweto kino bakikoledde mu kitundu kye Sam Ouanja, era ng’ennyumba eziwerako omuteeberezebwa okwekukuma abajambula abakolagana ne Joseph Kony ziteekeddwa Omuliro nezibengeya.
Amyuka omwogezi wa UPDF Col Deo Akiiki ategeezezza nti ekikwekweto kino kyakugenda mu maaso okutuusa ng’abayeekera bonna abalina akakwate ku Joseph Kony nga baweddeyo mu Central African Republic.
Bisakiddwa: Kato Denis