Luggya Bbosa Tabula avunaanibwa ogw’okukulemberamu olukwe olw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa, asindikiddwa ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 03 October, 2024 lwanadda mu kooti okwennyonyola ku ttemu lino.
Luggya nga ye mutwe omukulu mu musango guno aleeteddwa mu kooti ya Lubaga-Nateete e Mengo eyali emanyiddwa nga Mwanga II, wakati mu bukuumi obw’enjawulo, era ng’olumuggye mu mmotoka atandikiddewo okwewera nti yaateekeddwa okubeera Lwomwa (omutaka omukulu ow’akasolya k’Endiga), era nti kyeyava yasalawo okuluka olukwe olutta Eng.Daniel Bbosa.
Agambye nti yapangisa Sserunkuuma (naye yattibwa abatuuze) ne Noah Luggya abaali bataambulira ku bodaboda nebamulinnya akagere nebamukuba amasasi, yali mu mmotoka ye ng’anaatera okutuuka mu makage e Kikandwa Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala
Bino byaliwo nga 25 February,2024.
Omulamuzi Adams Byarugaba ali mu mitambo gy’omusango guno, agambye nti omusango guno gwa nnaggomola gulina kuwulirwa kooti enkulu, wabula amugambye nti asobola okusaba kooti n’emuyimbula ku kakalu kaayo.
Luggya oluggyiddwa mu kooti n’atwalibwa e Kabanga Mpigi ewali amasabo ge, ng’ali ne bambega ba police era ng’eno kigambibwa nti nayo waasangibwayo obuwanga bw’abafu 17.
Wiiki ewedde ba mbega ba police baamukwatira ku kyalo Kimerika-Namulonge mu gombolola ye Busikuma, oluvannyuma lw’emyezi 6 nga bamuyigga.
Omuwaabi wa government Caroline Mpumwire agambye nti okunoonyereza kwonna kuwedde.
Tabula aliko obujulizi obulala bweyewaddeko bwa nsonga 3 nga takakiddwa mu nkola emanyiddwa nga extra judicial statement.
Yategeeza yatta eyali Lwomwa Eng.Daniel Bbosa mu ngeri ey’okuwoolera eggwanga, nti kubanga taata we(owa Luggya) eyali ayitibwa Israel nti yeyalina okuba Lwomwa nti naye nattibwa mu 1989.
Agamba nti yali era agudde ne mu lukwe lw’okutunda ettaka ly’obutaka bw’ekika, ate nti era baali bamulemesa (Luggya Tabula) okufuna obwannanyini ku ttaka ly’agamba nti lyali lya kitaawe e Namulonge mu Busiro.
Luggya Tabula ye mutwe omukulu mu bavunaanibwa omusango gw’okutta Eng.Daniel Bbosa, n’abantu abalala 5 okuli Noah Luggya omu baakubira ddala amasasi, saako Milly Naluwenda eyali omuwandiisi wa Kooti ya Kisekwa n’abalala 2.
Bisakiddwa: Betty Zziwa