Abatuuze be Kitanaaba mu Buwenge district ye Jinja bakeredde mu ntiisa, bwebasanze entaana zabantu musanvu nga zisimuddwasimuddwa.
Abatuuze bagamba nti basanze entaana z’abaana 4 ziziikuddwa n’ez’abakulu 3 nga zonna ziri ku kyalo kimu.
Police ye Buwenge ereese embwa ezikoonga olusu, zibatutte mu maka g’abasawo bekinnansi 2, nebakwatibwa.
Sentebe w’e kyalo Kitanaaba, Baliraine Ben agamba nti mu ntaana zonna ezisimuddwa basanzeemu ngumbagumba na mbugo, ng’Obuwanga butwaliddwa.
Bisakiddwa: Kirabira Fred