Luggya Bbosa Tabula akkiriza nti yeyakola olukwe lw’okutemula eyali Akulira ekika ky’Endiga Omutaka Eng.Daniel Bbosa.
Bbosa omusango agukkiririzza ku police awatali kumukaka, era atwaliddwa ku kkooti ya Buganda road okuwaayo obujuluzi bwe, bussibwe mu buwandiike.
Aleeteddwa ku kooti wakati mu bukuumi bw’abasirikale ababadde bambadde engoye ezaabulijjo.
Obujulizi buno kooti yakubwesigamako mu kuwulira omusango gw’obutemu ogumuvunaanibwa ye kennyini Luggya Tabula n’abalala 5 abali mu nkomyo.
Omutaka Eng Daniel Bbosa yakubwa amasasi nga 25 february, 2024, yali mu mmotoka ye ng’anaatera okutuuka mu maka ge agali mu Kikandwa Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Abatemu babiri baali batambulira ku pikipiki, wabula olwamala okutta omutaka abamu ku bantu abaabalaba nebabagoba nebabakwata, omu baamuttirawo ate omulala Noah Luggya naasigala n’ebisago.
Police yamutaasa nemuddusa mu ddwaliro, gyabaamuggya ng’ateredde naatandika okuwerennemba n’emisango, saako eyali omuwandiisi wa Kooti ya Kisekwa Milly Naluwenda.
Luggya Bbosa Tabula yali amaze ebbanga ng’akaayanira ekifundikwa ky’ekika.
Mu ngeri yeemu, omwogezi wa police Rusoke Kituuma yategeezezza nti Tabula era alina okwennyonyolako ku misango egyekuusa ku buwanga bw’abantu 17 obwasaangibwa mu ssabo lye e Mpigi.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa