Police mu bizinga e Ssese etandise okunoonyereza ku kyaviiriddeko emmotoka Sinotruck okutomera omwana omuto n’emutta bweyabadde alinnya ekidyeri okuva e Kalangala okudda e Lutoboka.
Akabenje kano kaaguddewo ku saawa kkuminabiri ku mwalo e Bugoba, emmotoka Lukululana eyabadde yeyuna obudde okusanga ekidyeeri ekisembayo okuva e Kalangala, yalemeredde omugoba waayo, netomera omwana omulenzi nemutta.
Okusinziira ku bamu ku baabadde mu kifo Kino, emmotoka eno yatuuse kikeerezi ng’ekidyeri kigenda kusimbula, omugoba waayo n’alwaana alinnye ku Kidyeri.
Wano weyatomeredde omwana n’amutta olwo emmotoka nayo neelemelerwa okulinnya ekidyeri ate ng’eyonoonese.
Amyuka omubaka wa government e Kalangala Henry Lubuulwa ategeezezza nti police etandise okunoonyereza ku nsonga eno, wabula n’alabula abagoba b’ebidduka okukomya okudduka endiima nga bagoba okusaanga ekidyeeri olw’obutakwaata budde.
Ekidyeeri ekyatomeddwa emmotoka kiyimirizza emirimu gyakyo basobole okudaabiriza awayonoonese ekitaataganyiza entambula y’abantu mu bizinga.
Guno omulundi gwakubiri emmotoka lukululana okukola akabenje ku Kidyeri, ng’omulundi ogwasooka, ekimmmotoka ekyaali kitisse omusenyu kyagwa mu nnyanja nga nakati tekigyiibwangayo.#