Abantu 6 bafiiridde mu bubenje bubiri obugudde e Iganga mu kiro ekikesezza olwa leero nga 23 September,2024. Akabenje akamu kagudde ku luguudo oluva e Iganga okudda e Kaliro okumpi ne...
Abakulembeze mu district ye Kaabong mu Karamoja balabudde nti ssinga government teyingira mangu mu nsonga za district eyo ne ginaayo eye Kotido ku nsalo ezitannagoonjoolwa, wandibalukawo okulwanagana okuyinza okutabula Karamoja....
Minister wa Kampala Minsa Kabanda agobye okusaba kwa meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, ng'ayagala akakiiko akaatekebwawo okunoonya ettaka awagenda okuyiibwa kasasiro kayimirizibwe, olw'emigozoobano gyagamba nti gyetobese mu ntekateeka ey’okunonya...
Kooti ya LDC mu Kampala esindise ku alimanda omusomesa wa Nakivubo Blue Primary School Sarah Nalubiri ow'emyaka 28, avunaanibwa okubba omwana ow'emyaka 2 okuva ku kanisa emu ey'abalokole mu Kisenyi....
Akatuubagiro keeyongedde ku University ya government eye Kyambogo, abamu ku basomesa ababadde basomesa mu nkola ey'ebbalirirwe (Part Time lecturersw) ababadde babanja ensimbi zabwe ez'omusaala, ate nti University yabagobye newandiisa abalala...
Police mu district ye Kiboga ekutte abantu 3 basangiddwa n'ente bbiri eziteberezebwa okuba enzibe. Ente babadde bazitaambuliza mu mmotoka eya Taxi No.UAY 374 Y. Abakwatiddwa kuliko Kamya paul wa myaka...
Government mu butongole eyimirizza ebidduka byonna ebibadde biyita ku Lutindo lw'e Karuma, lumenyebwewo luddemu buto okukolebwa. Minister avunaanyizibwa ku by'enguudo n'entambula Gen. Katumba Wamala agambye nti okuva nga 23 September,2024...
Omuliro gukutte negusaanyaawo ebintu by'abayizi ku somero lya Kakungulu memorial school e Kibuli Makindye Division mu Kampala. Ekisulo ekiyidde kibadde kisulamu abayizi abalenzi 52 aba S.3. Okusinziira ku mwogezi wa...
Police mu district ye Mityana ekutte omusajja Samuel Tumusiime agambibwa okukuba mukyalawe akatayimbwa n'amutta, ng'amulanga okukweka ensimbi ze naagenda azinywamu omwenge. Ettemu lino libadde ku kyalo Kyakosi mu gombolola ye...