Abakulembeze mu district ye Kaabong mu Karamoja balabudde nti ssinga government teyingira mangu mu nsonga za district eyo ne ginaayo eye Kotido ku nsalo ezitannagoonjoolwa, wandibalukawo okulwanagana okuyinza okutabula Karamoja.
Ssentebe wa district ye Kaabong Merry Jino, ategeezezza bannamawulire nti district ye Kotido yatwala ettaka lya district ye Kaabong eriwezaako obuwanvu bwa kilometre 15, nga yekwasa nti tewali nsalosalo ntongole zigyawula ku Kaabong.
Ssentebe Jino ategeezezza nti oluvannyuma lw’okuwambibwa kw’ettaka lye Kaabong, egombolola 3 okuli eye Noyoro, Sidok ne Lolera tezikyafuna buweereza bwetaagisa.
Agamba nti ne mu kubala abantu okwakaggwa mu mwezi gwa May,2024 nti wandibaawo abantu abataabalibwa, olw’okusika omugwa okwamaanyi okwava ku kukaayanira obwa nannyini ku ttaka.
Ssentebe Jino mungeri yeemu asabye abakulu mu ministry y’Ebyobulimi okunoonyereza ku tractor ezirina okuyambako abalimi okwekulaakulanya ezitamanyiddwako mayitire, Ssonga mu biwandiiko ziraga nti zaatuusibwa e Kalamoja.
Mu kiseera kino eggye lya UPDF ligumbye e Kaabong okuggya ku bantu ba bulijjo emmundu.
Okusinziira ku Lt.Col Gaston Mugalula omuduumizi w’ekibinja ekya 45 ekiri e okuva mu mwaka 2021 e Kaabong wakagyibwayo emmundu 207, n’amasasi 683.
District ye Kaabong eri ku nsalo ya Uganda ne Kenya wamu ne SouthSudan.
Bisakiddwa: Kato Denis