Nabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavude asanyizaawo ebintu byabulindo nabulindo bwa nsimbi mu kitundu kya Mbuya 1 e Nakawa era amayumba g’abantu mangi gafuuse muyonga.
Omuliro guno gutandiise ku saawa nga 4 ez’ekiro ekikesezza olunaku olwaleero nga 22 September,2024, gutandikidde ku ssomero lya Side View nursery and primary school Mbuya Kinawattaka.
Police eyeese ebimotoka byaayo ebizikiriza omuliro wabula esaanze ebintu by’abantu kumpi biweddewo
Okusinziira kuberabiddeko nagabwe bagamba nti omuliro gwandiba nga gwavudde ku masanyalaze agataasiibyeko naye mukukomawo negakomawo n’amaanyi.
Meeya wa Nakawa municipality Paul Mugambye agambye nti essomero eriyidde ligenda kujira liggalwa okutuusa nga waliwo ekikoleddwa eky’amangu, okulidduukirira.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif