Kooti ya LDC mu Kampala esindise ku alimanda omusomesa wa Nakivubo Blue Primary School Sarah Nalubiri ow’emyaka 28, avunaanibwa okubba omwana ow’emyaka 2 okuva ku kanisa emu ey’abalokole mu Kisenyi.
Ng’ennaku z’omwezi 8 September,2024 camera eziri okumpi n’ekanisa zakwata omukazi ng’ayogera n’abaana abawala abakulu 2, wayita akaseera nebakomawo n’omwana omuto ow’emyaka 2.
Camera zongera okulaga omukazi ng’adduka n’omwana ono, ate wayitawo akaseera katono abaana ababiri nebakomawo webaalese omukazi n’omwana baasanga ekifo kikalu.
Okuva olwo bazadde b’omwana ne police babadde ku muyiggo, era police yabadde etaddewo n’ensimbi ezibadde zigenda okuweebwa omuntu yenna abadde amanyi amayitire g’omwana.
Nalubiri balabidde awo ng’aleese omwana ku police, ng’ayagala emuwe n’ensimbi zeyabadde emutaddeko.
Police yagenze okwetegereza nga Nalubiri yennyini eyaleese omwana, era yalabikira mu katambi ng’abuzaawo omwana, kwekumukwata n’emutwala mu kooti abitebye.
Omulamuzi wa kooti ento owa LDC Korya Martin asomedde Nalubiri emisango gy’okuwamba omwana, era naamusindika ku alimanda okutuusa nga 7 October, 2024 lwanadda mu kooti awerennembe n’emisango.
Wabula Nalubiri agamba nti teyalina kigendererwa kyonna kyakuwamba mwana kumutusaako buvune, wabula yali amututte azannyenga n’omwana we aleme kuwuubaala.
Bisakiddwa: Betty Zziwa