Akatuubagiro keeyongedde ku University ya government eye Kyambogo, abamu ku basomesa ababadde basomesa mu nkola ey’ebbalirirwe (Part Time lecturersw) ababadde babanja ensimbi zabwe ez’omusaala, ate nti University yabagobye newandiisa abalala okudda mu bifo byabo ababadde basusse okubanja.
Kigambibwa nti abasomesa abo bamaze emyezi egiri wakati we 16 ne 18 nga tebafuna musaala gwabwe, olwa University obutabeera na nsimbi obuwumbi 5 n’obukadde 600 ez’okusasula emisaala gyabwe.
Babadde baatandiika okubanja omusaala okuva omwaka ogwayita 2023.
Margret Rwobushaija Namubiru omu ku babaka b’abakozi mu parliament ensonga yabassomesa ba University ye Kyambogo eno, agyettise nagitwala mu parliament n’agisaba ebeeko okunoonyereza kwekola ku ntambuza y’emirimu mu University eno.
Okusinziira ku Margret Rwobushaija Namubiru, ebbanguliro lya Mechanics ne Production abassomesa balyo babadde bamaze emyezi 16 nga babanja omusaala.
Omubaka ono agambye nti ekitongole ku University eno ekivunanyizibwa ku bakozi ekya Human Resource mu kifo kyotuula awamu n’abaddukanya University okunoonya ensimbi ezisasula abasomesa ate ky’abagobye bugobi nekiwandiisa abalala kyagambye nti ssi kyabwenkanya yadde.
Ministry y’ebyenjigiriza essuubirwa okwanukula ensonga eno mu lutuula lwa parliament.
Kyambogo University erina abasomesa abali eyo 1,281 okusinziira ku nsengeko empya University eno gyerina okutambulirako, wabula ku bano, erinako abasomesa 401 abali ku lukalala lwa government kwesasulira abakozi baayo, ate abasomesa abalala University yetetenkanya engeri y’okubasasulamu.
#