Minister wa Kampala Minsa Kabanda agobye okusaba kwa meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, ng’ayagala akakiiko akaatekebwawo okunoonya ettaka awagenda okuyiibwa kasasiro kayimirizibwe, olw’emigozoobano gyagamba nti gyetobese mu ntekateeka ey’okunonya ekifo ekiggya. .
Ssalongo Erias Lukwago yategezeza nti waliwo omulyo ogugenda mu maaso mu kitongole ekya KCCA, nga waliwo abakozesa akakiiko kano akatondebwawo okunoonya ekifo ekiggya, okulwawo okukola ogwako.
Lukwago yabadde alagidde nti akakiiko kano kayimirire mbagirawo nebyebakola biyimirizibwe olwa Vulugu .
Wabula amyuka ssenkulu w’ekitongole ekya KCCA Eng David Luyimbaazi agambye nti tebasobola kuyimiriza kakiiko kano, nti Lukwago nebanne balina okuggya ebyobufuzi mu nsonga eno baleke akakiiko kakole ogwako
Wabula Luyimbaazi akiriziganyiza ne Lukwago nti kituufu akakiiko kano kaluddewo okufuna ettaka, nti wabula babaleke bakaleke kakole ogwako.
Akakiiko kano kassibwawo oluvannyuma lwa kasasiro w’e Kiteezi okubumbulukuka naabikka enju z’abantu, abasoba mu 35 nebalugulamu obulamu.
Mu Kiseera kino KCCA eri mu kattu k’okunoonya ekifo ewalala gyerina okutandika okuyiwa kadasiro.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif