Abantu 6 bafiiridde mu bubenje bubiri obugudde e Iganga mu kiro ekikesezza olwa leero nga 23 September,2024.
Akabenje akamu kagudde ku luguudo oluva e Iganga okudda e Kaliro okumpi ne Flyover, era awo bana bebafiriddewo nga nabamu kubo babadde ku ppikipiki.
Ate akalala kagudde mu bitundu bye Walugogo ku luguudo oluva e Iganga okudda e Jinja, eranga awo babiri bebakafiiriddemu.
Ebikangabwa bino biggye abatuuze mu mbeera nebasalawo okuggala oluguudo oludda e Kaliro na baagala ekitongole kya UNRA kiteekewo obugulumu, obubenje bukendeere.
Mayor wa Iganga municipality Bbamu Lulenzi yennyamidde olw’obubenje obweyongedde mu kitundu ky’akulembera, n’agamba nti aludde ng’alaajanira ekitongole kya UNRA kiteeke obugulumu ku luguudo oludda e Kaliro naye nga tekibaanukula.
Police emirambo egigyewo n’egitwala mu ggwanika lye ddwaliro e Iganga.
Bisakiddwa: Kirabira Fred