Police e Naggalama ekubye abantu 2 amasasi nebafiirawo, nga kigambibwa nti babadde babbye ente. Ababiri bano abatannamanyika mannya babattidde mu Kabuga ke Nakasajja mu kiro , nga police egamba nti...
Police e Kabowa mu gombolola ye Lubaga mu kibuga Kampala eri ku muyiggo gw'omukuumi owa kampuni ez'obwannanyini akkakanye ku munne namufumita ebiso ebimusse lwa kulemererwa kugabana. Sente ezivuddeko obuzibu zibadde...
Abatuuze be Kitende B ku luguudo lw'e Ntebbe baguddemu entiisa, abaana babiri ababadde bawugira mu kiddiba bwebafiriddemu. Abatuuze bagamba nti waliwo ebinnya ebisimwamu ebbumba mu kitundu kino, abaana bwebavudde...
Eklezia Katolika mu Uganda eri mu kiyongobero, olw'okufa kwa Monsignor Expedito Magembe, omutandisi w'ekifo ekisinzibwamu ekya Mt Sion Prayer Centre Bukalango mu Wakiso district. Ekifo kino abakirisitu nabenzikiriza ezenjawulo...
Kaliddinaali Robert Francis Prevost okuva mu USA alangiriddwa nga Paapa ow'omulundi ogwe 267. Omulangira wa eklezia Robert Francis Prevost alonze erinnya lya Paapa Leo XIV. Ye paapa asoose okuva mu...
Police ye Iganga ekubye amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala mu balonzi be Bukaaye mu gombolola ye Nakalama mu district ye Iganga , ababadde bakuηaanye okulonda abakulembeze babwe ku LCI aba...
Abantu 3 bafiiriddewo, nabalala 7 nebafuna ebisago eby'amaanyi, mu kabenje akaagudde e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli. Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga North ASP...