Ttabbamiruka womulundi ogwe 12 ow’e kibiina kya Dp bukyanga kitandikibwawo mu 1954 atandise enkya ya Leero nga 30 May,2025 e Luti mu district ye Mbarara.
Okusika omuguwa ku kyali kw’amaanyi nga abesimbyewo abamu bagamba nti negyebuli kati nga tebanalaba ku nkalala zaabagenda kulonda.
Ttabbamiruka ono atuukidde mu kiseera nga banna kibiina Kya Dp Bali mukutya nti ekibiina kyabwe kyandyongera okubulira mu kibiina ekiri mu buyinza enkya NRM, oluvanyuma lwomukulembeze wabwe aliko Nobert Mao okuba ng’akyakoleramu government ya NRM.
Abakulira DP ne NRM omukwano gubadde gubasaza mukabu, oluvanyuma lw’endagaano eyakolebwa wakati wa President Museveni ne Nobert Mao nga akalulu ka 2021 kakakomekerezebwa, era naweebwa nobwa Minister gw’ebyamateeka n’essiga eddamuzi.
Ssaabawandiisi wa DP Dr. Gerald Siranda Blacks agambye nti alabudde nti tewali muwagizi w’abamu ku besimbyeewo nga simulonzi agenda kukkirizibwa kuyingira wagenda kukubaganyiza birowoozo nakulonda, bw’aba nga simulonzi.
Agambye nti efujjo elyakoleddwa e Kampala nga banna Dp balumba ekitebe kyabwe lyakomye, e Mbarara omukono ogwekyuuma gwakuvaayo.
Mungeri yeemu agambye nti olwaleero batandikira mu kukubaganya birowoozo kungeri yokukolaganamu n’ebibiina ebirala.
Akinoganyiza nti webanaaviira e Mbarara nga bategedde nagenda okubakwatira bendera kubwa president bw’eggwanga mu kalulu akajja aka 2026
Nobert Mao yakwasibwa obuyinza mu 2010 okukulembera DP, wabula wazze wabalumawo obutakkaanyaa mu bannakibiina obuviiriddeko abamu okutandikawo ebibiina ebyabwe,abalala okutandikawo ebisinde by’ebyobufuzi ate abalala okusalanga eddiiro nebagenda mu bibiina ebirala.#