Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ekye ssomero lya Shida Aisha orphanage Centre e Bukaaye mu gombolola ye Nakalama mu district ye Iganga.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SP Mike Kafaayo, tewali mwana atuusiddwako bisago mu muliro guno, wabula ebintu byabwe biweddewo.
Agambye nti abakulira amasomero bakyali balagajjavu ku ky’okuteeka obuuma obuzikiza omuliro mu bisulo n’okwetoloola amasomero gabwe okwerinda obubenje bw’omuliro.