Ebitongole by’ebyokwerinda ebyenjawulo nga bakulembeddwamu police biyiiriddwa ku kyalo Bukasa mu muluka gwe Kirinnya Bweyogerere mu Kira municipallity Wakiso district, okunoonyereza ekigambibwa okuba bbomu etegeddwa mu maka agamu negakwata omuliro, abantu 6 bafiiriddemu.
Abafudde ye ssemaka Ssekibira Fred ne mukyalawe Winnie Mbeeda n’abaana 4.
Abatuuze n’abadduukirize abalala bonna balagiddwa okwamuka ekitundu ab’ebyokwerinda nga bwebanoonyereza.
Kigambibwa nti ku ssaawa nga mwenda ogw’ekiro, waliwo ekinru ekyasoose okubaluka nga bbomu mu nnyumba ya mutuuze munnabwe, nekyaddiridde ye nnabbambula w’omuliro abantu bonna abaabaddewo nebasirikkiramu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo