• Latest
  • Trending
  • All
Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

March 18, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

by Namubiru Juliet
March 18, 2026
in BUGANDA
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri
0
SHARES
101
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza omuyungagano (Link) ogugenda okweyambisibwa banna Uganda okusonderako ensimbi z’okuzimba ekifo awanaakyusizibwanga obusomyo mu balwadde ba Nnalubiri.

Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Bank y’ebyobusuubuzi ey’eggwanga; Pearl Bank nga bakolagana ne Rotary Club of Kampala Springs wamu ne Joint Clinical Research Centre.

Obukadde bwa Dollar za America butaano n’omusobyo bwebwetagibwa mu nteekateeka eno, nga woosomera bino baakafunako akakadde kamu n’emitwalo ataano.

Ekifo ekino kizimbibwa Lubowa ku kitebe kya Joint Clinical Research Centre.

Bw’abadde atongoza omuyungagano guno mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti enteekateeka eno egwa bulungi mu buwuufu bwa Ssaabasajja Kabaka, obwokulwanyisa obulwadde bwa Nnalubiri.

Okuva mu mwaka 2017 okutuuka 2020 Omutanda yasiima ensimbi ezaavanga mu misinde gy’amazaalibwa ge zaassibwa mu kaweefube  w’okukebera n’okujjanjaba abalwadde ba Nnalubiri.

Katikkiro bwatyo akoowodde banna Uganda bonna okuwagira enteekateeka y’okuzimba ekifo webakyusiza obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri, kitaase ku balwadde ababadde bakozesa ensimbi enkumu okugenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi buno n’abandi nebafa olw’okubulwa obusobozi obubatwala ebweru.

District Governor owa Rotary Club 9213 Geoffrey Martin Kitakule asabye Katikkiro ayongeremu eddoboozi ku nsonga eno lituuke ku bantu bonna era bagiwagire, nti kubanga bangi eddoboozi lye baliwulira era nebalikkiririzaamu.

Ssenkulu wa Joint Clinical Research Centre Dr. Cissy Mutuluuza agambye nti obulwadde bwa Nnalubiri bukyeraliikirza nnyo mu Uganda, kubanga bukwata ekifo kyakuna okubeera n’omuwendo gw’abalwadde abangi mu mawanga agetoolodde eddungu Sahara.

Dr. Cissy Mutuluuza agambye nti balina essuubi nti ssinga ekifo kino kiggwa okuzimbibwa kyakuyamba okuzza essuubi mu balwadde ba Nnalubiri bawone, era obulamu bwabwe budde buggya, n’asaba ab’omwoyo omulungi okubadduukirira.

Ssenkulu wa Pearl Bank Julius Kakeeto agambye nti olw’obulungi n’obwetaavu bw’enteekateeka eno, Pearl Bank weeri nnyo okuyambako n’okwanguyizaako abantu okusonda ensimbi nga tebalina kutya kwonna.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist