Ekitongole ky’amawanga amagatTe ekivunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamu ki United Nations High Commission for Refugees mu Uganda (UNHCR) nga kikolera wamu ne government ya Uganda basazeewo okusala mu muwendo gw’abakozi abakola ku nsonga z’abanoonyi b’obubudamu mu Uganda nga ttagali avudde ku bbula lya nsimbi eziddukanya emirimu.
Ekiwandiiko ekisiddwako omukono minister wa Uganda avunanyizibwa ku bibamba, ebiggwa tebiraze n’abanoonyi b’obubudamu Eng. Hilary Onek wamu n’akulira ekitongole ki United nations high commission for Refugees mu Uganda Mathew Crentsil,abakulu banyonyodde nti embeera ekalubye mu ntambuza yemirimu olwebbula lyensimbi
Abakulu bategeezezza nti ng’ennaku z’omwezi 23 May,2025, abakulu mu kitongole ki United Nations High commission for Refugees nabakulu mu government ya Uganda baasisinkana okwogera ku nsonga zino ,era newabaawo ensonga ezaakaanyizibwako nga mwemwali okusala ku muwendo gw’abakozi okukendeeza ku nsimbi ezisassaanyizibwa.
Uganda erimu abanoonyi bobubudamu akakadde 1 n’emitwaaalo 90, wabula abakulu bagambye nti ensimbi eziriwo tezisobola kuddukanya mirimu, okuli okutuusa emmere ,amazzi ,obujanjabi nebyetaago ebirala eri abanoonyi bobuddamu mu nkambi gyebawangaalira
Mu mwaka 2024 government ya Uganda yali yetaaga obukadde bwa ddoola za America eziri eyo mu 800 okulabirira abanoonyi bobuddamu, wabula yasobola kufunako ebitundu 13% byokka eby’ensimbi ezo.
Uganda ebuddamya abanoonyi bobuddamu okuva mu DR Congo ,South Sudan ,Sudan ,Eritrea, Somalia n’abalala
Bisakiddwa: Ddungu Davis