Embeera eyongedde okutabuka mu kibiina kya Dp abawagizi b’ekibiina kino bwebavudde mu mbeera mu kiro ekikeseza olwaleero nga 01 June,2025, mubTtabamiruka eyatudde e Mbarara.
Abalonzi bebalemesezza okulonda okubadde kulina okubaayo obudde obw’ekiro nga bagamba akulembeddemu eby’okulonda tebamwesiga.
Mu mbeera eno eyakavuvungano,amagye ne police biyiiriddwa okukuuma emirembe, era okulonda tekubaddeyo nga bwekwali kwateekeddwa.
Nga bino tebinabaawo, obukulembeze bwa Nobert Mao bwawaddeyo obuyinza mu butongole ,obuyinza bwonna nebabukwasa Keneddy Mutenyo, ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu DP.
Wabula Ssentebe Mutenyo bweyazze okuwa alipoota ng’eraga nti omu kubesimbyewo Richard Ssebamala yagyiddwa mull lwokaano,awo ensonga zonna wezaakomye, abalonzi nebatabuka nga bagamba nti obukulembeze obukadde tebulina buyinza buggyamu Ssebamala Richard ate nga buvudde mu buyinza.
Kennedy Mutenyo ayogeddeko ne CBS FM nategeeza nti embeera ebadde nzibu ddala ng’abalonzi batabuse, era nti babadde tebayinza kugenda mu maaso nakalulu.
Alumirizza Richard Ssebamala n’abawagizi be nti bebaasiinze okuteewo efujjo mu kalulu kano nekayimirira, naye nategeeza nti basuubira akalulu okukakuba leero nga 01 June, balonde abakembeze ba DP abaggya.
Wabula Richard Ssebamala agambye nti wadde ng’obukulembeze obubadde obwa Dp bwawaddeyo obuyinza, nti naye bagala ne ssentebe w’akakiiko ake byokulonda naye basooke bamukubeko akalulu ,balonde agenda okutegeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya.
Ssebamala mungeri yemu agambye nti nekyokubayiira amagye ne police mu kiro tebakyagala bagala akalulu kabwe kaveemu abakuuma ddembe baleke banna kibiina balonde abantu bebaagala era agambye nti tagenda kuva mu lwokaano luno.#