Government etongozza Omulimu ogw’okuteeka kolaasi mu nguudo 3 ezisangibwa mu district ye Mpigi.
Enguudo ezo zigenda kukolebwa munteekateeka ez’okutumbula enkulaakulana mubitundu ebyetoolodde ekibuga Kampala.
Okutongoza Omulimu gw’okukola Enguudo ezo kubadde kukyaalo Kibutu mu ggombolola eye Muduuma.
Bagenda kusooka kukola luguudo olwa kms 15.6 oluva mu kibuga kye Mpigi okutuukira ddala e Muduuma mu town kuluguudo oluva e Kampala okudda e Mityana, ng’omulimu gw’okukola oluguudo olwo gugenda kumalawo obuwumbi bwa Shs 60.
Oluguudo olulala olugenda okuteekebwaamu kolaasi luva mukabuga ake Nakirebe okutuuka e Buyala nga luno luwezaako kms 9.6 gattako nolulala olwa Lungala Link nga luno lwa kms 4.8 nga luva Lungala okuddayo kululi oluva e Mpigi okudda e Muduuma. Oluguudo olwa Mpigi Muduuma lusuubirwa okuggwa mubbanga lya myezi 18.
Bwabadde atongoza omulimu gw’okukola Enguudo ezo, minister wa Kampala Hajat Miisa Kabanda asabye abakulembeze be Mpigi okulondoola kampuni yabachina eya Zhongmei Construction services egenda okukola Enguudo ezo, era neyeebaza abatuuze bannyini ttaka abakkirizza okuwaayo ettaka nga tebasasuddwa munteekateeka y’okugaziya Enguudo ezo.
Minister ategezeezza nti ensimbi ezigenda okukola Enguudo ezo, government yazeewoze kuva mu bank yansi yonna.
Ate RDC we Mpigi Kigozi Ssempala alabudde banna Mpigi beegendereze embeera y’amaka okusajjuka olw’abakozi ba kampuni yabachina abayinza okutabangula amaka.
Omubaka wa parliament owa Mawokota North Hillary Kiyaga Dr Hilderman agambye nti enteekateeka yokukola Enguudo ezo wamu n’obutale nkulaakulana y’amaanyi ezze mu kitundu n’alabula ba contractor obutagezaako kubulankanya bikozesebwa.
Abakulembeze mukitundu ekyo abalala okubadde Omwaami wa Kabaka ow’essaza Mawokota Sarah Nannono Kaweesi, Omubaka wa parliament Omukyala awa district ye Mpigi Teddy Nambooze balaze essuubi nti akatale kebyamagizi mukitundu ekyo kagenda kweyongera.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick