Emmotoka esaabadde abaana 3 nga bava ku b’essomero mu bitundu bye Namungoona ku Luyinja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, omu afiiriddewo
Emmotoka etomedde abaana No. UBH 835R Lactiz ng’ebadde ewenyuuka buweewo.
Okusinziira ku Ssentebe w’ekyalo Namungoona 1, Biira Gertrude, abaana b’essomero bano babadde basala luguudo emmotoka nebakubira mu luguudo wakati, ababiri baddusiddwa mu malwaliro, naye omu afiiriddewo.
Alabudde abagoba be bidduka okukomya okuvugisa ekimama nadala mu bibuga omubeera abantu abangi.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif