• Latest
  • Trending
  • All
Wazzeewo okukubagana empawa ku bifo by’abakaba ba Uganda abakiika mu EALA – abaalondeddwa okukiika mu parliament ya Uganda

Wazzeewo okukubagana empawa ku bifo by’abakaba ba Uganda abakiika mu EALA – abaalondeddwa okukiika mu parliament ya Uganda

March 23, 2026

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

August 13, 2026
CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri –  2027 ne 2028

CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri – 2027 ne 2028

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Opinions

Wazzeewo okukubagana empawa ku bifo by’abakaba ba Uganda abakiika mu EALA – abaalondeddwa okukiika mu parliament ya Uganda

by Namubiru Juliet
March 23, 2026
in Opinions
0 0
0
Wazzeewo okukubagana empawa ku bifo by’abakaba ba Uganda abakiika mu EALA – abaalondeddwa okukiika mu parliament ya Uganda
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Parliament yomukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa eya East African Legislative Assembly (EALA) ewandiikidde sipiika wa parliament ya Uganda, n’erangirira nti ebifo by’ababaka ba Uganda 2 nti byasigadde bikalu era byetaaga okulonderwamu abalala.
Sipiika wa EALA nga munnansi wa Burundi Joseph Ntakirutimana ebifo byababaka ba Uganda byalangiridde nti bikalu kuliko ekya  James Kakooza ne Denis Namara, olw’ababaka bano okwesimbawo mu kalulu ka Uganda era nebalondebwa mu parliament ya Uganda eddako.
James Kakooza yaalondebwa ng’omubaka akiikirira abakadde ba Buganda mu parliament eddako eye 12, so nga Denis Namara yaalondebwa ng’omubaka wa Buyaga West mu parliament era eddako.
Bombi bali ku babaka omwenda Uganda beyaasindiika mu parliament ya East African Legislative Assembly.
Oluvanyuma lw’okulonndebwa , sipiika wa parliament eno eya East African legislative assembly Joseph Ntakirutimana yawandiikidde sipiika wa Uganda.m namutegeeza nti ebifo ebyo byetaaga okujjuza.
Ebbaluwo eno ereeseewo akatuubagiro n’okukubagana empawa mu bagoberezi b’ensonga zomukago gwa East Africa awamu nababaka bennyini aboogerwako
Omubaka James Kakooza abuulidde  CBS radio nti sipiika wa parliament y’omukago teyeebuzizza ku bannamateeka b’omukago ng’awandiika ebbaluwo eno nti kubanga yabadde teyetaagisa mu kiseera kino.
James Kakooza agambye nti nga tanalayira ng’omubaka wa parliament ya Uganda omujjuvu, sipiika wa parliament yomukago talina ngeri yonna gyasobola kulangirira kifo kye mu parliament ya EALA nti kikalu.
Kakooza agambye sipiika wa parliament y’omukago yandiba ng’alina ebiruubiribwa ebikusike.
Awadde eky’okulabirako nti Tanzania ababaka baayo mu parliament yoomukago baagenda nebeesimbawo ewaabwe era nebalondebwa mu parliament e Tanzania naye bbo tabawandiikiranga.
Munnamateeka Fred Mukasa Mbidde eyaliko omubaka mu parliament yomukago, awabudde sipiika womukago, ebbaluwo eyo egisazeemu nti kubanga yagiwandiise mu nsobi.
Mbidde awabudde ne parliament ya Uganda okwetegereza ensonga eno n’obwegendereza, nti kubanga ababaka ababiri aboogerwako James Kakooza ne Denis Namara bakyali babaka ba EALA okutuusa nga balayiziddwa mu parliament ya Uganda ng’ababaka abajjuvu, mu May 2026 gy’emyezi ebiri okuva kati.
Ennyingo eya 50 ey’etteeka eryasaawo era okutambulizibwa omukago likugira ababaka ba parliament  okuva mu mawanga g’omukago, okuvuganya ate ku bifo byobukiise mu parliament yomukago.
Okulonda okwawamu okwa parliament yomukago gwa East Africa kwakubaawo omwaka ogujja 2027.#
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1
  • Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist