Olutuula lwa baminister ba Buganda olw'omwaka 2024 olusookedde ddala lutudde mu Bulange e Mengo, lukubiriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Bakubaganyirizza ebirowoozo ku nnambika ya Ssaabasajja Kabaka ey'omwaka oguwedde, nga yesigama...
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda asiibye ku Mbuga y'ekisaakaate ku somero lya Hormsidallen e Gayaza, ng'abangula abasaakaate mu bintu ebyenjawulo. Nabagereka era agguddewo ekizimbe kino kusomero lino ekyabbuddwamu...
Kiberu Kizito Kamya ye Muzira mu bazira wa 2023 ow'Entanda ya Buganda 2023. Munna Kabula Kiberu Kizito Kamya eyeddira Emamba Namakakka anywedde akendo mu bazira banne bwebabadde mu Lwokaano. Omuzira...
Abamegganyi b'Entanda ya Buganda batandise okusoyebwa ebibuuzo mu Nkuuka Tobongoota 2023, egenda mu maaso mu Lubiri e Mengo. Abamegganyi b'Entanda mu Nkuuka 2023 Abamegganyi 6...
Abatunda eby'okulya mu Nkuuka Tobongoota beyoolera nismbi, olw'abantu abaakedde okweyiwa mu Lubiri e Mengo. Chapati ne kasooli bye bimu ku by'okulya ebisinze okuleetebwa mu bungi, so nga n'abatunda emmere n'eby'okunywa...
Abantu enkoko bajikutte mumwa okuyingira mu Nkuuka Tobongoota etandise okuyindira mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo. Abantu abasinga abavudde mu bitundu bye wala esaawa wezaaweredde omukaaga ez'ekiro nga bus zitandise...