Olutuula lwa baminister ba Buganda olw’omwaka 2024 olusookedde ddala lutudde mu Bulange e Mengo, lukubiriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Bakubaganyirizza ebirowoozo ku nnambika ya Ssaabasajja Kabaka ey’omwaka oguwedde, nga yesigama ku mulamwa ogw’obutabongoota.
Katikkiro Charles Peter Mayiga Charles Peter Mayiga asabye abakiise okuteeka mu nkola ebiragiro bya Ssaabasajja Kabaka n’okutereeza ebitaatambula bulungi omwaka oguwedde 2023
Katikkiro era asabye abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka byonna okukulembeza obumu mu byebakola.#