Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda asiibye ku Mbuga y’ekisaakaate ku somero lya Hormsidallen e Gayaza, ng’abangula abasaakaate mu bintu ebyenjawulo.
Nabagereka era agguddewo ekizimbe kino kusomero lino ekyabbuddwamu erinnyalye kiyitibwa Nabagereka Sylvia Nagginda.
Ekisaakaate kitambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okulafubanira Obuntu Bulamu “.
Nabagereka abasomesezza ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala, okukuuma empisa,obuyonjo,okuyamba abalala, okusoma n’ekigendererwa n’ebirala bingi.
Mungeri yeemu Nabagereka asabye abazadde okulambika amiti emito ku nkozesa ya Technology ow’omulembe, essimu n’ebirala baleme okubuzibwa buzibwa abantu abalala.
Abasaakaate babuulidde Nabagereka Sylvia Nagginda byebaakayiga mu kisaakaate omuli Okufumba, okulima ,Okukola eby’emikono ,Obuwangwa n’ennono Emiteendera gyo bukulembeze mubwakabaka nebirala .
Ssenkulu wa Nabagereka Development Foundation akitongole ekitegeka Ekisaakaate kya Nabagereka Omukungu Andrew Adrian Mukiibi, ategezezza nti Nabagereka abalungamiza okuteeka esiira ku kungaanyizo ly’ebyedda kiyambe abaana okumanya ebyafaayo.
Akulira asomero lya Hormiseddalen Praimary School Gayaza Kalyango Godfrey Nixon agamba nti basazeewo okutuuma ekizimbe ekipya ku ssomero lino erinnya Nabagereka Slyvia Nagginda, ng’ekirabo kya Nabagereka ekye Kisaakaate 2024.
Beyanzizza omukisa ogwabaweebwa okuteegeka ekisaakaate kubanga kibayambye nyo okukunganya abaana okuva mu ggwanga lyonna.
Kino kyekisakatee ekya 17 bukyanga kitandika mu mwaka gwa 2007 ,era nga kiwagiddwa MTN Finance Trust Bank ,Smuz ,Jesa nabalala bangi kikomekerezebwa nga 20 January,2024.
Bisakiddwa: Nakato Janefer