Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde ensasaanya y’ensimbi akawumbi Kamu n’Obukadde 500 (shs1.5b) ezaava mu nteekateeka ya Luwalo Lwange olw’omwaka 2023, nga zino zaasinga ku bukadde 900 ezaleetebwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu mwaka 2022.
Alipoota esomeddwa Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa era nga ye muwanike w’Obwakabaka,eraze nti Obukadde 208.97 zezasasaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro ge Kasubi.
Ebyobulamu byasasaanyizibwaako Obukadde 131, nga muno mwalimu okulwanyisa Siriimu n’Okutegeka ensiisira z’ebyobulamu mu masaza agenjawulo, n’ensawo ya Ssabasajja eyebyenjigiriza yawagirwa.
Obukadde 240 zagenda mu kuzimba amalwaliro ga Buganda okuli erye Busimbi mu ssingo, Njeru mu Kyaggwe wamu ne Buddu gonna omulimu gw’okugazimba gugenda mu maaso.
Minister wa government ezebitundu Owek Joseph Kawuki, ategeezezza nti abantu ba Beene bongedde okumanya amakulu agali mu kusonda ensimbi eziddukanya Obwakabaka, naasaba abaami ku mutendera gyonna obutakoowa.
Kaggo Ahmed Maganzaazi nga ye mwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo, agambye nti enkola Eno tekomye ku kubiriza Bantu ba Kabaka kusonda ensimbi, wabula n’Okuvaamu ensimbi ezizziddwa mu bitundu ebyenjawulo, nezizimba enzizi ,okutumbula Ebyobulamu n’Entekateeka endala.
Agambye nti oluwalo lubayambye okutuuka ku bantu mu bitundu byabwe nebamanya embeera gyebayitamu awatali kusosola.
Bisakiddwa: Kato Denis