Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabitone okwetoloola ensi yonna okubitwala nga kyamuwendo eri obulamu bwabwe, n’okubifuula omulimu oguvaamu ensimbi.
Katikkiro abadde ku Bulange mu mbuga enkulu e Mengo, bwabadde asisinkanye omuzannyi w’Ensambaggere Juma Zantuuyo , oluvannyuma lw’okuwangula Omudaali gw’Ensambaggere oguli ku mutendera gwa Africa ogwa World All Fights Systems Organization zaali mu district ye Bugiri yakuba Ivan Koreta.
Katikkiro Mayiga agambye nti ebyemizannyo birimu emiganyulo mingi, omuli Okuvumbula ebitone, Emizannyo gisanyusa era giwummuza, Emizannyo mulimu, bireeta obulambuzi,eby’emizannyo biyingiza omusolo eri government, era Emizannyo gigatta abantu.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Robert Sserwanga, yeebazizza abavubuka abakozesezza obulungi ebitone byabwe, nategeeza nti Obwakabaka bwakubaako engeri gyebubayambako mu ngeri eyenjawulo.
Juma Zantuuyo naye yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwokutumbula ebyemizannyo, naawera nti wakukozesa omukisa gwonna gwanaafuna okutumbula Uganda n’Omuzannyo gw’ensambaggere.
Mu ngeri yeemu musaayi muto Luzinda Jusper Braham munnakatemba amanyikiddwa ennyo ku mutimbagano gwa Ticktok, aweereddwa sikaala okusoma ku ssomero lya Disney Junior and day care center Nateete, okusoma okuva mu kibiina ekisooka okutuuka mu kyomusanvu.
Akulira essomero lino Nanfuka Prossy , ategeezeza nti omuyizi ono abadde wanjawulo, era nga basazeewo okulaba ng’ekiruubirirwa ky’okuzannya firimu kyalina kituukirira.
Bisakiddwa: Kato Denis