Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula Omwalogwe ogwe Mulungu ogusangibwa ku Nyanja Nalubaale e Munyonyo, nasiima ekitongole ki Buganda Land Board olw’okukulakunya ekifo kino.
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka zÓkukulaakulanya ekifo kino zitandike, kisobole okuyingiza abagenyi ab’ebiti ebyenjawulo olwo Obwakabaka bukulaakulane.
Nyinimu Kalalankoma asiimye abavubuka olwomukwano gwebalina eri Obwakabaka naddala mu biseera eby’okusoomoozebwa, era naalagira ebifo nga Mulungu nébirala bikuumibwe butiribiri.
Ssabasajja ku mwalo e Mulungu alambuziddwa Ssejjengo Baker Ssentebe wékibiina ekitaba abavubuka mu Buganda ki Buganda Youth Council era omuweereza mu BLB, Ssalongo James Wamala naye nga muweereza mu Buganda Land Board.
Bamulambuzza n’okumutegeeza enteekateeka z’okukulakulanya ekifo kino.
Minister wÁmawulire era Omwogezi wÓbwakabaka Owek Isreal Kazibwe agambye nti kyakukulaakulanyizibwa biweese Obwakabaka ekitiibwa.
Omwogezi wa Buganda Land Board Denis Bugaya, ategeezezza nti omwalo guno ogwe Mulungu gwankizo nnyo eri Obwakabaka olwÉnteekateeka ezenjawulo ezikolebwawo, omuli Empaka zÁmaato , kyokka nategeeza nti tewali mulimu gwonna ogutyoboola ekitiibwa kyÉnnyanja gugenda kukolebwawo.
Bisakiddwa: Kato Denis