Nyabaghole Agnes Ithungu mukyala w`Omusinga wa Rwenzururu, atenderezza omutindo okutambuzibwa ekisaakaate kya Nnaabagereka, kyayogeddeko ng`ekikoze eky’amaanyi mu kugunjula n`okuteekateeka abaana be ggwanga.
Nyabaghole Agness Ithungu alambuddeko ku kisaakaate kya Nnaabagereeka ekibumbujira ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza.
Nyabaghole Agnes era agamba nti ekisaakaate kino kitadde etofaali ddene mu kutuukiriza obuvunanyizibwa abazadde bwebaasula eri abaana babwe, obw’okubagunjuula okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa.
Maria Nasali Amyuka Ssentebbe wa boodi ya Nnaabagereka Development Foundation, agamba nti okufuna abagenyi nga bano mu kisaakaate, kiraga obwa sseruganda obuli mu kisaakaate nti tekisosola.
Ekisaakaate ky`omwaka guno kitambulidde ku mulamwa ogugamba nti, Okulafubanira obuntu bulamu.
Bisakiddwa: Musisi John