Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde entekateeka y'Okutereka Omutaka Omubuze Eng Daniel Bbosa abadde Lwomwa w'ekika ky'Endiga,. Wakuterekebwa ku Butakka bw'ekika e Mbale Mpigi Mawokota ku Sunday nga 3 March, 2024. ...
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek. Prof. Twaha Kawaase Kigongo asisinkanyemu Abaami ba Kabaka mu Bungereza ne Ireland. Bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo ez'okwekulaakulanya n'okukulaakulanya Buganda. Abasabye bulijjo okujjukiranga...
Libadde ssanyu jjereere mu Kabuga ke Mpambire mu ssaza Mawokota, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye naalambula ku bantube ababeera kitundu ekyo. Omutanda bwatuuse e Mpambire ngaava mu ssaza...
Obwakabaka bwa Buganda butongozza Eryaato ettongole erigenda okukozesebwa mu mpaka z'amaato ga Buganda eza 2024, n'amateeka aganaagobererwa mu muzannyo guno. Eryato lino litongozeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku...